Mufti Shaban Mubajje waliwo abataagala yeeyongeze kisanja
Omulamuzi wa kkooti enkulu Emmanuel Baguma, alabudde Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje obutakemebwa kuddamu kwerayiza ku kifo kino okutuusa nga kkooti emaze okuwuliriza okwemulugunya kw'abantu abamuwakanya. Abawakanya Mubajje ono, bagamba nti atuuse emyaka 70 egy'ogerwako mu ssemateeka w'obusiraamu Mufti kw'alina okuwummulira nga tebalaba nsonga lwaki obukulu buno tabuwaayo mu mirembe.