Munnamawulire wa NTV akubiddwa bubi, ab’ebyokwerinda bamulanze kubakwata bifaananyi
Wabaddewo akavuyo ku kyalo Nammere wakati w’abebyokwerinda n'ekibinja ekibadde kikulembeddwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti Joel Ssenyonyi, bw'abadde agenze okukebera ennyumba ebadde emutegeezeddwako nti mulimu abantu abagolola obululu. Abasajja ababade ne mmundu ababade mu kikomera kye nyumba eno bakidde munamawulire waffe Stephen Kibwika ne bamukuba kko n’okutwala Camera ye gy’abadde akozesa. Wetwogerera ono afuna bujjanjabi ku ddwaliro li Doctors Hospital gyatwaliddwa nga ali bubi.Newankubadde Camera yaffe bagitutte, tuliko ebifananyi byetufunye ebiraga ekibaddewo.