NAZZIKUNO: Okuyiisa omwenge mu Buganda
Omwenge kyabuwangwa mu mwanga magi nga ne Buganda mw'ogitwalidde anti gukozesebwa okumala emikolo mingi, gamba ng'okwabya ennyimbe, Okwanjula, okumala Abalongo n'emirala mingi. Kyokka nno wadde abanywi bangi ensangi zino bettanira nnyo omwenge omuzungu, mwana wattu akenge akaganda ako mbu tekawoomye bitooke by'ebigwa. Kyokka bngi na ddala abato tebamanyi mitendera giyitibwamu okusogola omwenge ogwo gwe mulaba eyo. Mu mboozi yaffe eya NAZZIKUNO olwaleero, katuyiise.