Omuzannyo gw’okupika emifumbi; eyali omuzannyi Godfrey Lubega afuuse mutendesi
Munnayuganda omusibi w'emifumbi kiyite Body building Godfrey Lubega eyawangulako engule ya Mr Uganda wamu ne Mr Kampala abakanye n'ogwokutendeka abazannyi abandyagadde okuttunka mu mpaka z'eggwanga ez'enjawulo. Ono ategese empaka z'abayiga ezisookedde ddala ku Nice Gym e Busega ku lunaku lwa Iddi era agamba nti zaakubeerangayo buli mwaka okwongera okuteekateeka abazannyi ba bodybuilding.