Obutabanguko mu maka: Ennaku 16 zitongozeddwa
Bannakyewa basabye gavumenti okukola ebbago ly'etteeka erikugira abantu okumala gakozesa ebissi nga asidi ( Acid ) n’amazzi okutangira ababikozesa ng’ekyokulwanyisa okuwoolera eri abalala.Bano bagamba nti abantu bangi obulamu bwabwe bwonooneddwa oluvannyuma lw’okuyiirwa acid n’okwokebwa mu ngeri endala nga n’abamu batuuka n’okufiirwa obulamu bwabwe kyokka nga tewali tteeka bantu bano mwebavunaanibwa.Ate n’abasajja bakubiriziddwa okwewala okusirikira okunyigirizibwa kwebayitamu mu maka gaabwe okwewala ebiyinza okuvaamu ng’obutabanguko mu maka.Bino bituukiddwako mu kutongoza ennaku 16 ez’okulwanyisa obutabanguko mu maka ekiyitibwa, 16 days of activism.Okujaguza kuno kukoleddwa mu bifo eby’enjawulo.