E Butalejja, amataba gasazeko disitulikiti yonna
Abantu e Butalejja basobeddwa eky’okuzaako oluvanyuma lw’amataba okusalako disitulikiti yonna. Mukiseera kino abatuuze abamu badduka dda mu enyumba zaabwe olw’okujjula amazzi nga abamu basula ku masomero agabali okumpi. Bbo abakulembeze basobeddwa eky’okuzaako nga n’amasomero agamu gatandise okuggalwa - batandi n’okweraliikirira okulumbibwa endwadde nga n’abamu batandise n’okulwala.