Abaddukanya eddwaliro ekkulu e Kiryandongo bakolera ku bunkenke
Abaddukanya eddwaliro ekkulu e Kiryandongo bakolera ku bunkenke olw’obutaba na generator gyebasobola ekweyambisa singa amanyalaze gavaako. Bano bagamba kino kiteeka obulamu bw’abantu bangi mu matigga - Generatoro gyebaalina yayonooneka emyaka ebiri emabega. Kyoka era eddwaliro lino libanjibwa amasanyalaze ga bukadde 90.