Omukulembeze w’e ggwanga alagidde, Namwandu w’omugenzi Gen. Aronda aliyirirwe
Omukulembeze w’e ggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde ssabaminisita Robina Nabbanja okuliyirira Namwandu w’omugenzi Gen. Aronda Nyakayirima obuwumbi 11 akomye okugobaganya abantu mu gombolola y’e Gayaza e Kyankwanzi. Kino kiddiridde Namwandu Patricia Alinda Nyakairima okugaana abatuuze okuziika ku ttaka lino, ekiwaliririzza omukulembeze w’eggwanga okuyingira mu nsonga zino. Ettaka okuli enkaayana liriko obugazi bwa square miles ssatu.