OBUTABANGUKO MU MAKA: Kyarikunda agamba ayagala bwenkanya
Mu mboozi yaffe ey’omukyala Christine Kyarikunda mu district y’e Kamwenge tukutuusako ekitundu ekisembayo mw’ogenda okulabira Kyarikunda nga obutabanguka bwe yafuna mu maka bw’atuusa omwami okumuggyako abaana be bonsatule nga mu kiseera kino y’akamala emyaka egisukka mu ena taddangamu kubalabako. Yeekubidde enduulu mu kitongole ky’amakomera ne mu poliisi ez’enjawulo naye agamba tafunanga bwenkanya.