Ogwa Mubajje okwerayiza kkooti egwongezzaayo mpaka mu gwakuna
Okuwulira okwemulugunya okwemirundi ebiri okwokuwakanya okulondebwa kwa Sheikh Ramathan Mubajje ku bwa Mufti wa Uganda okumala emyaka emirala kkumi kwongezeddwayo okutuusa nga 16 omwezi ogujja.Omulamuzi wa kkooti enkulu Emmanuel Baguma agamba nti abawawaabirwa mu musango guno abawera 45 nga kwe kuli ne sheikh Mubajje n'abamyuka babadde tebannaweebwa biwandiiko bibayita mu kkootiWano ono waasinzidde n'alagira abeemulugunya mu musango guno okuwa buli muwawaabirwa ekiwandiiko ekimuyita mu kkooti ng'olunaku lw'okuwulira omusango guno terunnatuuka.Abaatwala okwemulugunya mu kkooti baagala esazeemu okulondebwa kwa Mubajje nga bagamba nti akuze nnyo okusobola okuddukanya woofiisi ya Mufti kubanga yawezezza emyaka ensanvu kwalina okuwummulira okusinziira ku ssemateeka wa Uganda Muslim Supreme Council - akakiiko akakulira ensonga z'obusiraamu mu Uganda.Bano era bagamba nti Mubajje aliko enziro nnyingi oluvannyuma lw’okusongebwamu ennwe mu by'okuwuwuttanya emmaali y'obusiraamu nga kati baagala omukulembeze ataliiko bbala era nga mwesimbu.Basabye kkooti esinziire ku nsonga zino esazeemu okulondebwa kwa Mubajje nga Mufti wa Uganda.Wabula aba Uganda Muslim Supreme Council bagamba nti abaatutte okwemulugunya mu kkooti tebaagoberedde mitendera egirambikibwa ssemateeka w'akakiiko kano egyokugonjoola ensonga nga zino nga tezinnatwalibwa mu kkooti.Bano era bagamba nti ensonga zino za ddiini kale nga tezisaana kugonjoolwa kkooti ezaabulijjo. Ekifo kya Mufti Sheikh Mubajje yakakimalako emyaka 24 oluvannyuma lw'eyasooka okulondebwa mu mwaka gwa 2000 wabula nga gyebbuvuddeko yalondeddwa ku kisanja ekyokutaano .