OKUBUMBULUKUKA KW’ETTAKA: E Bulambuli amakubo gazibiddwa, emmere eyonoonese
Abantu mu magombolola 4 mu distulikiti y’e Bulambuli batuula bufoofofo oluvanyuma lw’okubumbulukuka kw’ettaka okubalese nga tebalina webadda. Kino kidiridde enkuba empitirivu okutonnya mu bitundu binno okumala ennaku 3 era gye byagweredde ng’ettaka libumbulukuse. Linno lyayonoonye amakubo wamu n’ennimiro z’abantu nga kati bangi kubatuuze naddala abo abaali bafuna ssente mu nkola ya PDM kati bebuuza gye bagenda okugya ensimbi z’okuzza mu nsawo ya pulogulaamu eno.