Okufumbiza abatanetuuka: Akakiiko k’eddembe kennyamivu
Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu kennyamivu olw’omuwendo gw’abaana abawala abafumbirwa nga tebanetuuka okusigala waggulu newankubadde buli kisoboka kikoleddwa okulwanyisa enkola eno.Bano bagamba nti newankubadde abaana ab'obuwala abafumbizibwa nga tebanetuuka bakendedde okuva ku bitundu 36% mu mwaka 2016 okudda ku bitundu 33% mu 2024,omuwendo guno gukyali waggulu nnyo.Okusinga bagamba nti kino kyavuka ku muggalo ogwaleetebwa COVID - 19 ogwaleka abawala abasinga nga bali mbuto okukakana nga basibidde mu bufumbo bwebateyagalide.