OKUKWATIRA NUP BENDERA: Mubiru, Katongole ne Luyombya balekedde bannaabwe
Bannakibiina ki NUP abeegwanyiza ebifo by'obukulembeze bongedde okujjumbira omulanga gwabakulu mu kibiina okukaanya ne bebavuganya nabo okusobola okwanguya omuli mu gw'ekibiina okulonda abanaakikwatira bendera. Mu bano muli Julius Katongole eyasazeewo okwerekereza ekifo ky'omubaka wa Lubaga South ne James Mubiru eyeerekerezza eky'omubaka wa Lubaga South. Abalala kuliko Godfrey Luyombya eyeerekerezza ekya Meeya wa Nakawa.