OKULUNG’AMYA OKUNYWA OMWENGE :Waliwo bannakyewa abaagala gwongerweko emisolo
Bannakyewa abegattira mu kibiina kki Uganda alcohol Policy Alliance,abalaafubana okulaba nga enkozesa y’omwenge mũ ggwanga erungamizibwa, baagala omwenge nebitamiiza byonna byongerweko omusolo gwa bitundu 35 ku kikumiMu nsisinkano gyebabaddemu nababaka ba palament enkya yaleero,bagamba kino kyekyokka ekigenda okuyamba okulungamya n'okukendeeza ekozesa y’omwenge mu ggwanga oguviriddeko abamu ku bagukozesa okufuuka ekitagasa mpozi nokwonona abavubuka.