OKULWANYISA SIRIIMU: Abakulembeze b’abavubuka baagala gavumenti yeemalirire
Ababaka ba Parliament abatuula ku kakiiko akalondoola ensonga z’abavubuka, nga kwotadde abalwanirira ebyobulamu mu bavubuka basabye government okulaba ng’evugirire empeereza mu by’obulamu byayo okusinga okutuunulira abagabi b’obuyambi. Bano bakizudde nti abavubuka bangi abawangaala n’akawuka akaleeta mukeneya mu bitundu byeggwanga ebimu tebakyafuna buweereza bwetaagisa naddala bwekituuka ku by'okujjanjaba akawuka ka mukenenya olw'eggwanga lya Amerika okusala obuyambi obwali buyita mu kitongole kyayo ki USAID.