OKUSAALA EID AL-ADHA: Abasiiramu bakedde kweyiwa mu mizikiti egy’enjawulo
Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramadhan Mubaje, akubirizza abasiraamu obutenyigira mu bumenyi bw’amateeka ekiyinza okubaviirako okuyiwa omusaayi. Ono agamba nti abasiraamu balina okutambulira kunsomesa ye ddiini ekaatiriza emirembe.Mubaje, yakulembeddemu okusaala ku muzigiti gwa Kampala mukadde, ebikumi by’abasiraamu gyebikedde okweyiwa okusaala Eid Al Adha, mu kujjukira sadaaka ya Nabbi Ibrahim