Okutta Henry Katanga; kkooti bagiraze obutambi bwe obwasembayo
Obujjulizi obulala bwongedde okuzuuka ku nzita yomusajja Henry Katanga eyattibwa nga 2 November omwaka 2023 mu makaage e Mbuya. Olwaleero oludda oluwaabi luleese obutambi obwa Kkamera enkessi nga bulaga Katanga nga akyali mulamu , noluvanyuma nga amaze okuttibwa. Obutambi buno kati bugattiddwa ku bujjulizi obuneesigamwako mu kusala omusango guno.