Olukiiko luyimirizza enteekaateeka y'okugaba ettaka lya KCCA
Olukiiko lwa KCCA luwakanyizza okusalawo kwa palamenti okugaba poloti taano ku ttaka lya KCCA. Bano bagamba nti okusalawo okwakolebwa tekwagoberera mateeka kubanga olukiiko lwa KCCA terwamanya ku nsonga eno. Aba KCCA baagala ensonga y’okugaba ettaka lino eyimirizibwe mu kiseera kino nga bwe balinda alipoota ekwata ku b'ani abaaweebwa ettaka lino, gye lisangibwa gattako obunene bwalyo.Bino bibadde mu lutuula lw’okukiiko lwa KCCA olutuuziddwa olwaleero.