Omwana afiiridde ku ssomero wabula abazadde bawakanyizza eky’okwetuga
Poliisi mu district y'e Mpigi eri mu kunoonyereza ku ngeri omuyizi owe myaka kkumi gye yafiiridde mu kisulo ky'essomero li Abato Junior School e Mpigi.Okusinziira ku bamu ku bakozi b'essomero, kirowoozebwa nti omwana ono Gracious Bachwa, yeetuze-bwetuzi nga akozesa akaguwa k'engatto.Bino olugudde mu matu g'abazadde b'omwana, bazambalidde ku mugongo nga nswa okutuuka ku ssomero era bano kata bagwe abasomesa mu malaka nga babalanga okubalimba ku nfa y'omwana waabwe.Poliisi eriko b'ekutte.