Omutuuze w’e Kabowa asangiddwa yattiddwa okumpi n’ewuwe
Poliisi y’e katwe etandiise okunonyereza ku musajja eyasangiddwa ngattiddwa era omulambo gwe negusuulibwa e Kabowa mu ggombolola ye Lubaga. Omusajja ono nga ye David Ssempebwa aludde nga tamanyiddwako mayitire era ng’enganda ze zibadde zimunoonya okutuusa omulambo gwe lwe gwasangiddwa mu kifo ekyesudde amaka ge.