Omuwendo gw’abaana abawanduka mu masomero e Kaabong gweraliikiriza
Kizuuse nga disitulikiti ye Kaabong ekyalina okusomoza kw’abaana abawanduka mu masomero nga bakyali bato nga entabwe eva ku kya butaba na masomero gamala mu kitundu kino. Tukitegedde ng’abayizi abasinga bakoma mu kibiina kyakuna olw’amasomero ga gavumenti okubeera amatono ekivirideko abaana bangi obutasoma.