Omuyindi eyabuzibwawo bakama be ayogedde engeri gye yakukusibwamu okutuuka mu Uganda
Munnansi wa Buyindi eyali omufumbi mu maka g'omugagga Pankaj Oswal mu Switzerland agamba nti tamanyi kiddako mu bulamu bwe oluvannyuma lwa poliisi y'ensi yonna ng'eyambibwako eya Uganda okumununula nebamuggya e Tanzania gye yali asuuliddwa.Mukesh Menaria tuzze tumukulaga nga poliisi emuwenja oluvannyuma lw'ebigambibwa mbu mukama we ono yali yamuwamba namuddusizza kuno oluvannyuma lw'okumuwawaabira nti amubonyaabonya.Poliisi ya kuno etubuulidde nti ekitongole kya poliisi y'e Switzerland kyakwataganye dda nabo ku mutuuze waabwe ono era nga baakusalawo ekiddako ng'emisango gy'alina okuwaako obujulizi kuno nga giwedde.