Palamenti mu bantu esookedde ddala etudde Gulu
Ababaka 310 be beetabye mu lutuula lwa palamenti olusookedde ddala olw’ebitundu olugenda mu maaso mu kitundu kye Gulu.Ababaka bano batendereza sipiika Anita Among okuvaayo n'enkola eno gye bagamba nti egenda kubayamba okutuusa ebizibu ebiruma ekitundu kino n’amaloboozi gaabwe. Kyoka wadde nga ab’oludda oluvuganya baali basuubirwa okwebalama olutuula luno bangi balabiddwako okuva mu bibiina ebyenjawulo ebiri ku ludda oluvuganya.