Poliisi ekutte 2 ku by’ettemu ku akulira ebyobulamu mu Arua
Poliisi etubuulidde nga bwekutte abantu babiri okugiyambako mu kunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku abadde akulira ebyobulamu mu kibuga Arua Paul Drileba. Drileba ono yattiddwa eggulo bwe yabadde agenze okupima ettaka lye erisangibwa mu ggombolola ye Ajia. Drileba yalumbiddwa n'abantu abalala beyabadde nabo kati abali mu kufuna obujjanjabi mu ddwaliro ekkulu erye Arua.