Pulezidenti agamba aba JAT mu kulonda kw'e Kawempe baali bazze kukakkanya fujjo ly’abavuganya
Omukulembeze w'e ggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde okunonyereza okwamangu kukolebwe ku kulonda okwabadde e Kawempe buli eyenyigidde mu kulonda akangavvulwe. Pulezidenti agambye nti abaserikale ba JAT abayiibwa e Kawempe baali bazze kukakanya abavuganya gavumenti bakalifujjo , abali beesomye okutabula okulonda kuno. Kyoka agamba nti olw'obuwagizi obungi NRM bwerina e Kawempe kyawaliririza abavuganya okwagala okubba akalulu kaabwe.