Sheikh Kamoga avumiridde enjawukana mu by’obufuzi
Ku ludda olw'e Nakasero akulira Abatabbuliiki mu ggwanga Amir Umar Sheikh Yunus Kamoga asabye abantu okwewalira ddala enjawulana ezijja ne by'obufuzi naddala mu kaseera k'okulonda kano akasemberedde.Ono agamba nti mu kaseera kano enjawukana ziviirako abantu okutandika okulaba banaabwe nga abalabe , ekiyinza okuviirako okuyiwa omusaayi.Bino abyogeredde mu kusala okubadde ku Kisaawe kya Nakivubo Blue mu Kampala.