Sipiika Among atadde Minisita Muhoozi ku nninga kuby’okulumba Joel Ssenyonyi
Sipiika a palamenti Anita Among atadde ku ninga abakulu mu minisitule y’ensonga z’omunda mu ggwanga okwanguwa okunyonyola obulabe obutuusiddwa ku akulira oludda oluwabula gavumenti Joel Ssenyonyi, kko ne bannamawulire baabadde nabo olwaleero. Kino kiddiridde abasajja ababade n’e mundu okukakana ku motoka ya Ssenyonyi ne bagyasa endabirwamu y’e mabega, kko n’okuwuttula munnamawulire waffe Stepehen Kibiwika, Ssenyonyi bwabadde agenze okunoonyereza ku kifo kyebamutegeezezza nti kibaddemu ababadde babba obululu. Bbo ababaka ba palamenti bavumiridde, ebikolwa eby’effujjo ebirabikidde mu kitundu kino nga nokulonda kwennyini tekunnaba nakutandika.