Umukhuuka Jude Mike Mudoma atuuziddwa mu butongole, asabye abamasaaba okwegatta
Umukhuuka w’abamasaaba omuggya Jude Mike Mudoma ategeezeza nga bwagenda okutuusa abantu be mu kwesiima ngayita mu buweereza bwe gye bali. Ono olwaleero lwatuuziddwa mu butongole era nga mu bubaka bwe asabye abamasaaba okwerabira enjawukana ezibaddewo mu kulondebwa kwe beegatte basobole okutwala Bugisu mu maaso. Amyuka omukulembeze w’eggwanga Jesicca Alupo yakiikiridde omukulembeze w’eggwanga ku mukolo guno.