Waliwo abayizi abafiiridde mu kabenje
Abaayizi 2 ab'essomero lya Golden Hearts Nursery and Primary e Nansana bafiiridde mu kabenje e Kabulengwa emotoka ekika kya Elf bweremeredde omugoba waayo nebalinnyira wansi. Abalala basimattuse n'ebisago era nga bali mukufuna bujjanjabi mu ddwaliro. Kigambibwa nti bano babade bagenda kwetaba ku speach day yaabwe. Yo e Mityana ebyentambula ku luguudo oluva e mityana okudda e Mubende byasannyaladde okumala essaawa ezisukka mu ttaano oluvannyuma lwa lukululana okugwa mu luguudo. Lukululana eno yagwiridde mmotoka yabuyonjo wabula ng'ekyomukisa abaabaddemu basimatuse nebisago era nebaddusibwa mu ddwaliro.