Waliwo abeekubidde enduulu ku lwa Mbarara - Ibanda
Abatuuze n’abagoba b’ebidduka ku luguudo oluva eMbarara okudda e Ibanda bawanjagidde gavumenti okulaba ng’erudaabiriza anti lujjudde ebinnya nga kati bolekedde nakusimbamu bitooke. Abebidduka beekokkola oluguudo luno olwokubonoonera emmotoka so ng'era obubenje bwolekedde okweyongera nga kati tebakyaava mu garage.