Wuuno amaze emyaka 20 mu bufumbo eyatudde ebigezo bya S.6
Mu disitulikiti ye Sironko waliwo omukyala wa myaka 39 eyatudde siniya ey'omukaaga , oluvanyuma lwokumala emyaka 20 nga talinya ku ssomero.Omukyala ono Mary Masibo okuva mu somero kyaddirira okuzaala nga wa myaka 16 , kyokka kino tekuadda kiruubirirwa kye eky’okutikkirwa. Bwava wano atubuulidde nti ayagala kusoma mateeka oba okukuguka mu busomesa.