Yino emboozi y’omukyala eyakakibwa abazadde okufumbirwa ku myaka 14
Waliwo emboozi y’omukyala eyakakibwa abazadde okufumbirwa ku myaka 14 n’afuuka Nnaalongo mu ddya eryasooka kyokka olw’okutulugunyizibwa n’obutabanguko mu maka obufumbo ne bulema. We twogerera yaakamala emyaka 31 nga afumbira mu bugubi nga n’abazadde abaamufumbiza tebamukkiriza kudda waabwe. Ono alojja ennaku gy’azze ayitamu nga ne gyebuli eno akyafumbira ku nkato.Omukyala ono mutuuze w’e Kireka mu Kampala.