Waliwo obukiiko bwa palamenti Museveni bw’asisinkanye ku by'okugatta ebitongole bya gav’t
Omubaka wa NUP owa Kimaanya Kabonera, Dr. Abed Bwanika y'omu ku bagenza okwetaba mu nsisinkano y'ababaka ba NRM n'omukulembeze w'eggwanga e Ntebe. Ensisinkano eno esuubirwa okusalawo ekyenkomeredde ku bitongole ebyatalizibwa Palamenti mu nteekateeka y'okugatta ebitongole bya gavumenti ebifaanaganya emirimu. Bwanika agamba nti agenze okuwakanya eky'okugatta ekitongole ekivunaanyizibwa ku kutumbula omutindo gw'emmwayi ki Uganda Coffee Development Authority. Ebitongole ebirala ebitunuuliddwa mulimu eky'ebyenguudo ki UNRA N'ekyebibira ki NFA .