Abawaabi ba gavumenti bategeezezza nga bwebasanga obuzibu mu kuwaaba
Abawaabi ba gavumenti bategeezezza nga bwebasanga obuzibu mu kuwaaba n’okuwoza emisango egyekuusa ku kukukusa abantu, ate nga gyegimu ku misango egyikyasinze okutyoboola eddembe ly’obuntu.
Okusinziira ku amyuka Ssaabawaabi wa gavumenti Dr. Patricia Achan, obuli bw’enguzi yekanaaluzaala w’ekizibu kino, n’obutaba nabukugu bumala okuketta abakukusa abantu anti bakozesa obukodyo bungi.
Bano babadde mu kibiina Kyabwe ekibataba ki Uganda Association of Prosecutors, mwebabadde beefumintiriza ku butya bwebasobola okukwatamu ensonga y’okukukusa abantu.