Agambibwa okutta munne olw'omukazi akalambidde
E Ssembabule ku kyalo Butugu mu ggombolola y’e Kawanda eriyo omusajja, George Mulinda asula akukunadde nga lumonde mu kikata olw’abatuuze okumukijjanya nga bamulanga okutta munnaabwe ate n’atakangavvulwa nga bbo bwebaali bakyagala.
Ono agamba nti awangaalira mu kutiisatiisibwa olwa batuuze banne okutandika n’okumusuulira ebibaluwa nga bamulaalika okumutusaako obuzibu.
Bano RDC w’e Ssembabule Jane Kagayi, abalabudde obutesuula mu kabi wabula baddukire mu b’obuyinza bayambibwe bwebaba tebakkiriziganya nakibonerezo kyawebwa munnaabwe.
Ono okutta yamuteebereza okwagala mukazi we oluvanyuma lw’okumusanga nga afuluma mu nyumba ye mukiro.