OKUTANGIRA OBUJAMA E BUSAABALA :Amansa kasasiro wa kusasulj engassi
Abakulembeze ku kyalo Busabala Road zooni e Najjanakumbi mu gombolola y’e Lubaga bayisiza amateka amakakali eri abatuuze mu kaweefube w’okutangira obujama mu kitundu kino. Bataddewo engasi ya mitwalo etaano eri omutuuze anaalonkoma omuntu yenna gw’asanga nga amansa kasasiro, kyoka nga zirina kusasulwa oyo okwatddwa. Bano bakedde kukola bulungi bwansi mu kitundu kyonna okutangira obujama naddala mu kaseera kano nga enkuba etonya.