Ssentebe bezoobye n'omutuuze e Njeru
Wabadewo okuwanyisiganya ebisongovu wakati wa Ssentebe w’e kyalo Kyabaggu e Njeru mu munisipaali y’e Njeru e Buyikwe n’omutuuze Paul Musana agambibwa okuziba ekkubo ly’amazzi ng’enkuba bweyatonya gonna gagwera mu nyumba z’abatuuze.
Embeera eno abatuuze bagyirozezaako ekiro bwebaasuze nga bakukunadde olw’amazzi agaabayingiridde olw’okubulwa wegayita.