Olutalo e Congo: abayeekera ba M23 baky'eyongera okuwamba ekibuga Goma
Embeera mu ggwanga lya Congo n’okutuusa kati tennaba kuwa ssuubi buli kadde abayeekera ba M23 bongera okwezza ekibuga Goma. Kyo ekibiina ky’amawanga amagatte kikyasaba wabeewo enteseeganya kiwamirembe wadde nga abakulembeze b’amawanga gombi teri yalaze nti wakwetaba mu lukiiko olwayitiddwa ekibiina ekigatta amawanga g’obuvanjuba okussa wansi eby’okulwanyisa. Amalwaliro gajjudde abalumiziddwa nga n’awasimbibwa ebidduka wafuuse dda waadi z’abalwadde. Yo America eragidde bannansi baayo okwetegula eggwanga lya Congo.