Okunyweza eby’okwerinda mu ggwanga: poliisi etandise okuteeka poliisi ku buli ggombolola
Ssaabadduumizi wa Poliisi, Abbas Byakagaba, akakasizza nga omwezi ogugya kubuli gombolola yonna bwekugenda okubeerako poliisi ejjudde. Ono agamba kino kigendereddwamu kutuusa buweereza ku bantu nakunyweza eby’okwerinda mu bantu. Mu kiseera kino enteekateeka etandikiddwamu mu bitundu oba regions mwenda wabula nga yakubunyisibwa eggwanga lyonna mu kaseera katono ddala - eno y’emu ku nkola eyabalung’amizibwa omukulembeze w’eggwanga gyebuvuddeko mu nkola yabwe ey’emirimu.