Ab'oluganda lw'eyazikibwa ebweru bakyasobeddwa
Ab’enyumba ya Milly Namutamba eyafiira e Saudi Arabia gyeyali yagenda okukola obwa yaaya baagala gav’t ebayambeko okuza omulambo gw’omuntu wabwe kubutaka.
Namutamba yagenda mu mwaka gwa 2018 kyoka waayita emyezi 4 nga tebakyamuwuliriza nga bagenda okukizuula nga yafa nebamuziikayo mu nkukutu.
Kkooti enkulu e Kampala eragidde kampuni etwala abantu ebweru okubafunira emirimu eya Horeb Services Ltd okusasula ab’oluganda lwomugenzi engasi y’okufa kw’omuntu wabwe.