Abaami ba kabaka mu ssaza ly’e Singo baweereddwa obugaali
Abaami ba kabaka mu ssaza ly’e Singo abali ku mutendera gw’abatongole baweereddwa obugaali bu maanyi ga kifuba okubayamba mu ntambuza y’emirimu gyabwe.
Kino kikoleddwa mu kaweefube w’okwanguya n’okutumbula empeereza mu ssaza lya Singo okusobozesa abatongole okutuuka ku buli muntu wa Ssaabasajja.
Obwakabaka eno bubawadde obugaali obuweredde ddala 300.