Ababaka bagamba bakutesa ku by'endya by'abaana ku ssomero mu palamenti
Ababaka abatuuka ku kakiiko k’ensonga z’abaana mu palamenti ka Uganda parliamentary forum for children kaakukola ennongoosereza mu tteeka ly’abaana okusobozesa amasomero okutandika okuwa abaana eky’emisana ku masomero.
Bagamba nti abaana abasinga balemererwa okukwata byebasoma lwa njala ebabeera obukiika.