Abakulembeze ku kyalo Nyabyeya benyamivu olw’akatale
Abakulembeze ku kyalo Nyabyeya, mu gombolola ya Budongo mu disitulikiti ye Masindi, benyamivu olw’akatale akabazimbirwa mu kitundu kyabwe abasuubuzi okukazira nga kati kafuuka matongo.
Abasuubuzi bagamba akatale kano kaazimbibwa wala n’abantu nga nabwekityo tebasobola kugendayo.
Obuzibu abakulembeze babuteeka ku baazimba akatale kano, obutafuna ndowooza z’abakulembeze ba mu kitundu, n’abo abali mu mulimu gw’obusuubuzi.