Abakulembeze n’abatuuze b’e Najjanakumbi basobeddwa olwa kasasiro asusse mu kitundu kyabwe
Abakulembeze n’abatuuze b’e Najjanakumbi Busabala road basobeddwa olwa kasasiro asusse mu kitundu kyabwe. Bano bagamba okuva ennaku enkulu lwezaggwa kasasiro tayoolwanga ekiviiriddeko kasasiro ono okugwera mu myala. Basaba KCCA ebaduukirire nga embeera tennasajjuka.