Abalamazi okuva e Nebbi beesunze okuyingira Namugongo
Abalamazi okuva e Nebbi beesunze okuyingira Namugongo mu maanyi olunaku lw’enkya oluvanyuma lw’okutambula, killomita ezisoba mu 400 era olwaleero baakusula ku kasozi Naggulu ku kigo kya Our Lady and St. Jude.
Bano baaniriziddwa mu maanyi era obw’edda buli w’ebayita ng’abantu babakubira emizira n’enduulu ey’oluleekereeke nga kw’otadde okubawa eby’okulya n’okunywa.