Abantu abawangaalira mu town y’e Kamuli bafunye kaabuyonjo
Abantu abawangaalira mu town y’e Kamuli bawonye ekizibu ky’okumansa kazambi oluvanyuma lw’okubazimbira kaabuyonjo ey’omulembe. Aba minisitule y’amazzi n’obutonde bwe nsi bebaduukiridde abantu bano era babazimbidde kaabuyonjo 3 okuli eyo ku paaka ya taxi, ku somero li Buzibirira primary school ne Buwuda primary school ezimazeewo obuwumbi bw’ensimbi zaakuno busatu mu obukadde lwenda.