Abantu b’e Kisoro basuze bulindaala nga beetegekera okulonda
Abantu b’e Kisoro basuze bulindaala nga beetegekera okulonda omubaka wabwe omukyala olunaku lw’enkya. Kko akakiiki k’eby’okulonda kagamba bamaze okuteekateeka buli kimu okulaba nga okulonda kuno kuba kwa mazima n’obwenkanya. Ekifo kino kivuganyizibwako abantu 6 okuli Akifeza Grace Ngabirano atalina kibiina, Kabagyenyi Rose owa NRM, Musanase Juliet owa FDC, Cyimpaye Aisha wa PPP, Zubedi Sultana Salim wa NUP, ne Ingabire Mable owa UPC.