Abatuuze be Buyiga batendekeddwa mu by'emikono
Abatuuze abasoba mu 500 banaguddwa mu mirimu egy’emikono ku kizinga kye buyiga mu disituikiti ye Mpigi , nga emu ku ntekateeka y’okulwanyisa obwavu. Kawefube ono awomeddwamu omutwe atendekero lye lya MTAC nga bali wamu n’omuwabuzi wapulezidenti owa makolero Amelia kyambade. Bano babagundwa mu mirimu okuli okukola ebizigo, sabuni ,eby’okulya, okutunga, sako nebirala.