BATUULA BUFO: NEMA beewadde ekiwandiiko e Makindye basobeddwa
Abatuuze mu ggombolola ya Makindye Ssaabagabo batuula bufo olw'ekibaluwa ekivudde mu NEMA nga kibalaalika okusenguka mu bifo ebyentobazzi. Abamu ku bali mu bweraliikirivu beebo abalina ebizimbe eby'obusuubuzi mu bitundu NEMA byetunuulidde.Loodi Meeya Erias Lukwago bano abasabye okuteekateeka ebiwandiiko byabwe ebikwata ku bwannanyini ku ttaka kwebali olwo alabe watandikira okubayamba.