Omukozi w’awaka afudde, ab’oluganda batabukidde abadde amukozesa
Ab'oluganda lw’omukozi wa waka eyafudde mu kiro ekyakeeseza olwaleero batabukidde abadde mukama we nga bamuteebereza okuba nga alina kyamanyi ku kufa kwe. Bano bakoze olutalo okutuusa poliisi lweyitiddwa n’ekwatta abadde mukama we basooke banoonyereze ku nfa y’omukozi ono. Ab’oluganda bagamba omugenzi yandiba nga yatiddwa butibwa ku kyalo ky’e Namasuba Piida mu makindye Ssaabagabo.